Okuggyamu Embuto Mu Uganda

Okujjamu embuto mu gwanga lya Uganda tekukkilizibwa okujjako mumbeera ezikakasiddwa omusawo omukugu nga waliwo embeela eteeka obulamu bwómukyala mukatyaabaga. Mumbeera ngábakyala bafuna obuzibu okufuna obuweereza bw’okujjamu embuto mumbeera ekkirizibwa, banji nyo basalawo okujjamu embuto ngákozesa enkola enkyaamu -okugeza nga okwejjamu olubuto bokka. Ekitongole ekyóbulamu mu Uganda mu kunoonyereza okwakolebwa wakati wómwaaka 2017-2018, kiteeberezebwa nti nga 2018, ebitundu bitaano nóbutundutundu busatu kubuli kikumu mu bakyaala abafa ngábali mbuto kiva kubuzibu bwebafuna ngabajjamu embuto.

Waliwo emisoso mumateeka wamu nemumbeela ezabulijjo ebiremesa abakyala okufuna obuweereza bwókujjamu embuto mumitenderera ejikkirizibwa; nga kino kireera abakyala okwettannira okukozesa enkola ezitakkirizibwa era abamu nebatafuna bujanjabi bumala naddala ngá ebuto zimaze okuvaamu.

info

Okujjamu olubuto kikkiribwa mumateeka ga uganda?

Newankubadde Uganda yakkiriza endagaano eyakolebwa amawanga munsi yonna eyitibwa Maputo Protocol okukuuma eddembe lyábakyala, yakkiriza nga yerekereza akawayiro 14(2)C akógera kukusalao okujjamu olubuto singa omukyala abeera akwattiddwa, akabasanyiziddwa, akozeseddwa omuntu amulinako oluganda, akakiddwa omukwaano, oba nga olubuto lusobola okutuusa akabenje kubulamu bwamaama mundowooza oba obulamu okuwaliza awamu (CEHURD, 2016, p.23). Gavumenti ya Uganda ekyakalambidde okuteekawo embeela esobozesa abakyala okufuna obuweereza okusinziira kuddembe elibaweebwa elyo’bwebange okujjamu olubuto. Okukaka olubuto okuvaamu kikkirizibwa mumbeera elagiddwa oba okakasiddwa abasawo abakugu ddala ngakigendereddwa okutaasa obulamu bwómukyala. (HRAPF, 2016). Teri kiragiro kya’ggwanga kikkiriza buweereza buno naye abakwaasisa amateeka beyongera okukozesa Penal CodeAct Cap. 120, omuli akawaayiro akakugira okujjamu olubuto wamu nókutangira omukyala okulujjamu (Mulumba et al,. 2017). Okusiinziira ku mateeka agafuga Uganda bagakola nga gasinziira ku semateeka wégwanga era munkomerero, amateeka ogakwaata kunsonga zebyo’kwegatta zikkilra buweereza nga omukyaala amaze okujjamu olubuto (PAC). Ebitundu munaana kubuli kikumi (8%) kubantu bonna abali mu uganda, bakurisitaayo (okusinziira ku kunonyeereza kwa (Larsson et al., 2015) ate nga enzikiriza naddala eyabakatholiki evumilira nyo ensonga yokujjamu embuto. Mu mwaka gwa 2016, ennongosereza mu tteeka eritaasa okufa mubakyaala abali embuto wamu naabo abafa ngakiva mukujjamu embuto mubukyaamu lyayiimirizibwa nga kiva mukuwakanyizibwa abamu ku bayina obuyinza obusalawo. (Cleeve et al.,2016; HRAPF, 2016; Mulumba et al., 2017). Okukugira kuno kukosa eri abasawo wamu nábakyala kumitendera gyonna, abakabanyisibwa, abatiisibwatiisibwa, abawambibwa, abasingibwa emisango wamu naabo abasibibwa (HRAPF, 2016) Kino kikosa okusalaawo okulungi eri abakyala banji nyo okusalawo okugenda okukozesa enkola ezókujjamu embuto enkyaamu, nga bayambibwa abantu abatalina bumanyirivu, era abakyala banj nyo bali kubuzibu okufuna ebituli kunnabaana zaabwe, okuviibwaamu omusaayi omungi wamu nókufa (Aantijes et al., 2018; Kagaha ne Manderson,. 2020). Mu uganda, kiteeberezebwa nti embuto ataano munya (54) kubuli kikumi zijjibwaamu mubumkyaamu mubakyaala abatuuse okuzaala buli mwaaka (Moore et al., 2014). Okukugira okwamateeka kiremesa bannakweewa mu govumenti nábatali mu gavumenti okuyamba okuteeka obuweereza obusobola okukeendeza kunsonga ezokujjamu embuto mubulungi olwo nekiviirako abakyala banji okusosolebwa nga bandiyagadde okufuna obuweereza buno okujjako abo abeetaze obuweereza obwa okunaazibwa mulubuto nga lumaze okuvaamu kubanga kyo kkikirizibwa mumateeka (Mutua et al., 2018)

legal

Buweereza ki kunsonga yókujjamu embuto obuliwo mu uganda?

Uganda erina obuweerea obwa eddagala eryekikugu wamu nókulongoosa. Enkola ey’okukozesa eddagala (MA) elina okugatta dozi yebika byempeke bbiri, mifepristone wamu ne Misoprotol oba Misoprostol nga akozesebwa yekka. Enkola eyokulongoosa erimu emitendera ebiri, eyokunuuna (MVA) ne yókugaziya nókufulumya ebiri munnabaana (D&E) Okukozesa empeke kisoboka mpaka nga olubuto luwezezza sabbiiti kumi nabbiri. MVA ekozesebwa mpaka nga olubuto lwa sabbiiti kumi na nya. D&E ekozesebwa wakati wa sabbiiti kumi nataano ku abiiri munya.

cart

Nkola ki ezikkilizibwa mukujjamu embuto eziri kukatale?

Obuweke obujamu olubuto obuliwo bwe bwa Misoprostol awamu nobwo obulimu Misoprostol ne Mifepristone.

pill

Nsobola okujja wa empeke ezijjamu olubuto?

Misoprostol oba omugatte gwa misoprostol ne mifepristone bisaangibwa mu maduuka agatuunda eddagala mu uganda; naye weetaaga okunyonyolwa engeri gyolina okkozesa eddagala elyo. Emiweendo jikyuuka okusiinzira wa woguze eddagala elyo.

Amaduuka manji akatunda eddagala nga tegakuwa ndagiriro, era tebatera kuwa ndagiriro ku ani ateekwa okukozesa, dozi ki gyolina okkozesa nabutya bwolina okkozesa empeke ezijjamu olubuto.

cart

What do abortion pills look like in Uganda?

Eno yengeli eddagala lya Miso-Kare welifanana:

Miso-Kare pills for Abortion in Uganda

Eno yengeli eddagala lya Ma-kare welifanana:
Ma-Kare Abortion Pill

Eno yengeli eddagala lya Avertiso welifanana.Ebeeyi elowozebwa: UGX 6,000

Empeke za Avertiso misoprostol

Eno yengeli eddagala lya Mifeso welifanana: Ebeeyi elowozebwa: UGX 25,000 – 30,000

Mifeso Empeke z’eddagala lya Mifepristone & misoprostol

Eno yengeli eddagala lya Kontrac welifanana:

Kontrac Abortion Pill

Eno yengeli eddagala lya misoprost welifanana:
Misoprostol Abortion Pill

Eno yengeli eddagala lya Miso-clear welifanana:
Misoclear Abortion Pill

Eno yengeli eddagala lya Cytotec welifanana:
Cytotec Abortion Pill

Eno yengeli eddagala lya Mariprist welifanana:

Mariprist Abortion Pill

pill

Ani gwensobola okutuukirira nga njagadde okumanyisibwa kunsonga zókujjamu olubuto mumateeka mu uganda? Abo abatalina buzibu okwolekebwa mulujjude ku mutimbagano gwaffe beebano wammanga.

  • Aba Community Helath Rights Network (Coherinet) Aunt KAKI kunsonga ezekikyaala wamu nókumanyisibwa okwekikugu nga oyita kumutu ogutali gwakusasulira nga bakuwa obuweereza nga tebasosola ate nga bakuyamba okulonda empeereza eyo eliwo kubuli mukyaala ali mumyaaka ejizaala kubuli muteendera naddala abakyaala abakosebwa enyo mpaka kwaabo abali wansi kubyaalo.
  • Enamba ezókkuba nga zabweereere ziri, 0800 24 72 47 (MTN) oba 0800 34 73 47 (Airtel)
  • Tusange kumukutu ogwa Facebook: https://web.facebook.com/coherinet/
  • Okumanya ebikwata kukuyambibwa nga ovudemu olubuto oba okuyambibwa okujjamu olubutu nga amateeka gakyikiliza, tukilila: Aba Marie Stopes Uganda, kunsonga zókufuna olubuto, okunaazibwa ng’olubuto lumaze okuvaamu, era nga ku beeyi ensaamusaamu ku malwaaliro agayambibwaako aba Marie Stopes
  • Aba Reproductive Health Uganda, kunsonga zókufuna olubuto, okunaazibwa ng’olubuto lumaze okuvaamu, era nga ku beeyi ensaamusaamu ku malwaaliro agayambibwaako aba Reproductive Health mu Uganda
  • Aba Inclusive Health Bureu (URHB), ekikola kunsonga zókufuna olubuto, okunaazibwa ng’olubuto lumaze okuvaamu, era nga ku beeyi ensaamusaamu ku malwaaliro agayambibwaako aba URHB. Ekotongole kino ekya URHB kyawandiikibwa okusobola okuyamba okutumbula ebyóbulamu ebya bakyaala wamu abavubuka nábaana.
  • Aba Naguru Teenage Centre, abuweerebwa bulina empeereza zonna mukujjamu olubuto era némpeereza endala ozóbukugu. Empeereza zilimu okujanjabibwa endwadde zékikaba (STI), okukeberebwa wamu nókujanjabibwa, okukebera olubuto, okunywa eddagala mu bakyaala abali embuto, okujanjaba obulumi buva kunsonga zékikyaala, okuwa obuweereza nga oviiribwaamu olubuto, obuweereza kubujimu bwo, endya ennungi wamu nóbuyonjo.
  • The Association of Obstetricians and Gynecologists of Uganda (AOGU) Advance Reproductive Health services through excellent practice, education, research, collaborations and advocacy.
HowToUseAbortionPill.org kitongole kyobwa nakyeewa ekyawandikibwa mu U.S
HowToUseAbortionPill.org kitongole kifulumya amawulire agayigiriza gooka era tekirina nkolagana na kitongole kya byabulamu kyona.

Kiwagidwa Women First Digital