Embalirizi y’olubuto
Otuuse bbanga ki mu lubuto lwo? Okunonyereza kulaga nti eddagala erijjamu olubuto mu ngeri ey’obujjaanjabi likubirizibwa nnyo okukozesebwa nga ssabbiiti 10 tezinnaba kutuuka okuva ku lunaku lwewasemba okugenda mu nsonga. Koseza embalirizi y’olubuto okusobola okumanya ebbanga ki lyolina, okuva ku lunaku lwewasemba okugenda mu nsonga.
Ensonga zo ezasembayo wezibeera zatandika ku oba:
24 Febwaliyo 2023
Osobola okukozesa empeke y’okujjamu olubuto
Eby’okwetegeereza
Bwoba olina akaweeta akaziyiza okufuna olubuto
Bwoba nga olina akawuka akaleta mukenennya
Bwoba nga wekengedde okusasanya ebikukwata ko
Bwoba nga oyonsa omwana
Bwoba nga tolina musaayi gumala
Okubulirira okubuna
Okuluka olutegeka olw’obukuumi
Nga tunokola okuva ku kitongole ekiyitibwa American Congress of Obstetricians and Gynecologists, okujjamu olubuto okw’obujjaanjabi okukolebwa ku ssabbiiti ezisooka z’ezimu ku ngeri ez’obusawo ezisinga obutabeeramu bukosefu. Naye, olina okubeera omwetegefu buli kaseera okufuna obuyambi bw’obusawo obw’amangu. Tunula mu bibuuzo byaffe bino wansi okusobola okuluka olutegeka lwo olw’obukuumi bwoba nga olwetaaze.
Olina okuba nga osobola okutuukayo mu ssaawa 1 oba amangu ko. (Bwoba nga olina obukendeevu bw’omusaayi, olinaokutuukayo mu ddakiika 30.)
Onabeera n’omuntu yenna asobola okuvuga emmotoka? Onatambula ne ttakisi? Okutambula kwa bonna? Kinaakumalira ssente mmeka ate kinabeerawo mu ssaawa 24? Jjukira, sikirungi kwevuga gwekennyini ng’ogenda ku ddwaaliro mu mbeera eyaagisa obujjaanja bw’amangu obw’obusawo.
ki? Okujjamu olubuto okw’obujjaanjabi oba ewaka kugaanibwa mu mateeka wowangaalira? Kiki kyoyinza okugamba ba ddokita bo basobole okutegeera obuyambi bwewetaagisa, naye nga kikuuma obwekusifu bwo? Tulina ebiteeso ebimu bwoba nga wetaaga obuyambi nga olowooza ku kiki eky’okwogera.
Kiki eky’obulira ba ddokita bo Mu nsi ezimu, okujjamu olubuto mu ngeri ey’obujjaanjabi oba ewaka bigaanibwa ddaala mu mateeka. Kino kitegeeza nti bwoba nga wetaaga obuyambi bw’obusawo obw’amabu, olina okubeera omwegendereza ennyo ku kiki kyoyatula. Okujjamu olubuto mu ngeri y’obujjaanjabi kirina obubonero bwebumu nga olubuto oluvaamu lwokka (oluyitibwa spontaneous abortion). N’olw’ekyo, oyinza okugamba ebintu nga:
- Sikakasa kiki ekigenda mu maaso. Natandise butansi kuvaamu musaayi.
- Omusaayi gunvaamu, naye siwulira nga bwempulira mu nsonga eza bulijjo.
- Natandise butandisi kuyiwa musaayi era ntidde nti waliwo ekikyaamuekigenda mu maaso.
Ebyawandikibwako:
- “Induced Abortion.” American College of Obstetrics and Gynecologists. https://www.acog.org/Patients/FAQs/Induced-Abortion
- “Care for Women Choosing Medication Abortion.” The Nurse Practitioner. https://journals.lww.com/tnpj/Citation/2004/10000/Care_for_Women_Choosing_Medication_Abortion.9.aspx
- “Safe abortion: technical and policy guidance for health systems.”The World Health Organization. https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/70914/?sequence=1