
Enkozesa
Eddagala erikozesebwa mu mpeke ez’obujjanjabi ezijjamu embuto zikola mu ngeri nti ziweweeza era neziggula omumwa gwa nnabaana, era neziteeka nnabaana okwefuunza, ekisindika olubuto ebweeru.
Nga okozesa misoprostol, mu ssaawa nga 1 oba 2 ez’empeke ezisooka nga siyingidde munda mu mubiri, ojja kutandika okuwulira obulumi mu lubuto wamu n’omusaayi okuyiika. Olubuto lutera okuvaamu mu ssaawa 24 nga omaze okumira empeke ezisembayo eza misoprostol. Oluusi, kitera okubaawo mangu ko.
Bwoba nga Wekengedde
Bwoba nga okwatiddwaakwo, oyinza okuba nga okimanya nga ofulumizza ebinyama by’olubuto. Biyinza okulabika nga abibala abitonotono abiddugavu nga birina olususu oluwewere; oba akapirapiira akatono aketoloddwa akabuubi akeeru akagoonvu. Nga kisinzirira ku bukkulu bw’olubuto olwo, ebinyama bino biyinza okubeera bitono nnyo n’okusinga enjala zo, okutuusa ku bunene bw’ekigalo kyo ekisajja. Bwoba nga osobola okutegeera ebinyama bino, kino kitegeeza nti olubuto lujjiddwaamu bulungi. Oluusi, ebinyama by’olubuto biyinza okuwumbibwa mu bitole by’omusaayi. Oyinza obutabiraba okujjako nga wetegeerezza bulungi nnyo nnyini ddala.
Ebyawandikibwako:
- “Induced Abortion.” American College of Obstetrics and Gynecologists.
https://www.acog.org/Patients/FAQs/Induced-Abortion - “Care for Women Choosing Medication Abortion.” The Nurse Practitioner.
https://journals.lww.com/tnpj/Citation/2004/10000/Care_for_Women_Choosing_Medication_Abortion.9.aspx - “Safe abortion: technical and policy guidance for health systems.”The World Health Organization.
https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/70914/?sequence=1