Okujamu olubuto wakati was sabiti 10 Ku 13 ezolubuto

Embuto wakati wa sabiti 10-13 zisobola okujibwaamu obulungi nobuweke bwokujamu olubuto. Naye waliwo ebintu ebyenjawulo ebyokusooka okukolako

Pregnancies between 10-13 weeks

Okujamu olubuto obulungi nga tusizira ku sabiiti

Okujamu embuto nga zikyali nto kiba nobulabe butono. Obulabe bweyongera nga olubuto lukuze. Ekipande wansi kilaga engeri obulabe obwamanyi gyebweyongera okusinzira Ku kiseera kyolubuto. Yadde obulabe bweyongera mu mbuto ezikuze okujamu olubuto ku sabiti 13 kikyabalibwa nga ekitalina mutawana.

Onolaba ki mu kujamu olubuto oluvanyuma lwa sabiti 10?

Okujamu embuto mu dwaliro kuletera abakazi okukulukuta. Okulukuta kuno kusobola okubeera okunene okusinga okwa piliyodi ezabulijjo era kuyinza okuberamu ebitole. Kisoboka eri abakazi abalina embuto eziri wakati wa sabiti 10-13 okulaba ekintu ekisobola okutegelekeka oba ekilabika nga tissu. Kino kyabulijjo era tekikutiisa. Nga piliyodi ezamanyi osobola okufulumya ebitole byomusaayi ebinene mu kabuyonjo. Bwoba obeera munsi etakiriza okujamu embuto kakasa nti osula ekintu kyona ekiraga nobwegendereza ate mukyaama.

Abategesi:

  • Byona ebili ku mutimbagano guno bitegekedwa HowToUseAbortionPill.org okutukiriza ebisanyizo n’amateeka gebitongole bino w’amanga: National Abortion Federation, Ipas, World Health Organization, GKT International, ne Carafem.
  • The National Abortion Federation (NAF) kitongole ekigata abayamba abakyala abagala okujamu embuto mu North America ela ekikulemberamu okuwagila omuntu okwesalilawo kyayagala. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’amateeka agafulumizibwa ekitongole ki NAF mu 2020.
  • Ipas ky’ekitongole kyensi yona kyoka ekilwanirira abakyala okujjamu embuto nga tebafunye buzibu ne ngeli z’okwegema okuzaala. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’enbela z’ebyokuzala empya okusinzila ku basaawo abakugu ez’afulumizibwa ekitongole ki Ipas mu 2019.
  • The World Health Organization (WHO) kitongole ekyekusifu ekya United Nations ekikwasaganya eby’obulamu munsi yona. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’entekateka ya WHO ekwasaganya ebya’bakyala okujamu embuto ngatebafunye buzibu.
  • DKT International kitongole eky’obwanakyewa ekyatandikibwa mu 1989 okukozesa amanyi g’okusasanya mu bantu amawulire agakwata ku kwegema okuzala, okuziyiza akawuka ka mukenenya, na bakyala okujamu embuto nga tebafunye buzibu munsi ezimu ezisinga obunene.
  • carafem kitongole kya malwaliro agayamba abakyala okujamu embuto no kwegema okuzala mungeli ey’ekikugu era endugamu okubasobozesa okusala ku bana abazalibwa n’okujawo okuzala okumukumu.

Ebyawandikibwako:

HowToUseAbortionPill.org kitongole kyobwa nakyeewa ekyawandikibwa mu U.S
HowToUseAbortionPill.org kitongole kifulumya amawulire agayigiriza gooka era tekirina nkolagana na kitongole kya byabulamu kyona.
Powered by Women First Digital.