Wetegeereze: Ssabbiiti bbiri nga omaze okujjamu olubuto, okwekebejja okulaba olubuto kuyinza okulaga nti mweruli olwa ‘hormones’ ezisigala nga zikyaali mu mubiri. Singa weyngera okuwulira obubonero bw;olubuto (nga amabeera okukuluma, ekikeeto, obukoowu, etc.) nga omalirizza okukozesa empeke ezo, genda olabibwe ddokita.
Nga ojjamu olubuto, obubonero obwo waggulu bwa buli jjo. Wetegeereze. Wansi waliwo obubonero obulaga nti oyinza okubeera nga olina obukosefu.
Omusaayi omungi okuyiika.Singa wesabika paadi 2 buli ssaawa 2 mu kwegobereza nga omaze okulowooza nti ojjeemu oIubuto, kuno kuvaamu musaayi omungi ennyo. Olina okufuna obuyambi bw’omusawo singa ovaamu omusaayi omungi bweguti. Okubuna kitegeeza nti paadi ebunidde ddala omusaayi, mu maaso n’emabega, ku luda n’oludda wamu n’emunda mwayo.
Obulumi obungi.Singa owulira obulumi obungi obutagwaawo yadde omaze okumira ibuprofen, noonya obuyambi bw’omusawo. Obulumi nga buno obungi ennyo buyinza okuba nga butegeeza nti olina obukosefu obwekuusa ku lubuto lwo. Obulumi obutajjibwawo ibuprofen kayinza okubeera akabonero akabi ennyo. Tukubiriza nti omukazi yenna ow’olubuto awulira obulumi alina okunoonya obuyambi bw’obusawo.
Okuwulira obulwadde obungi.Oyinza okubeera n’omusujja, ekikeeto n’okusesema olunaku lwomira misoprostol. Kino kisuubirwa. Olina okuwulira obulungiko buli lunaku nga oamlirizza okukozesa mpeke z’okujjamu olubuto. Tolina kuwulira bulwadde. Singa owulira obulwadde olunaku lwonna nga omalirizza okukozesa misoprostol, olina okunoonya obuyambi bw’omusawo.
References:
This website may require anonymous cookies and various third party services to function properly. You can read our Terms & Conditions and Privacy Policies. By continuing to use this site you are giving us your consent to do this.