
Ngatonatandika, soma ekiwandiko kyafee: Ngatona kozesa Mpeke. Ngatonamira buweke, kakasa nti:
- toli lubuto lusuka wiki 13 (enaku 91) ;
- wetegereza ebirina okulowoozebwako byona era n’okuwabulwa kwawamu; er
- oyina pulani eyobukumi singa wabawo ebigwabitalaze.
Nkozesa ntya mifepristone ne misoprostol okusonyiwa olubuto?
Bwoba ogyamu olubuto ne mifepristone ne misoprostol, ogyakwetaga empeke ya mifepristone 200 mg era nekitono empeke nya eza misoprostol 200mcg ( okugata awamu 800 mcg).
Kisingako okumira empeke munana eza misoprostol awamu. Oyinza okwetaga okuzimira zonna okukakasa nti olubuto luviriddemu dala, nadala singa oli lubuto lwa wiki 9-13. Nayenga, singa olina empeke za misoprostol nya zokka, tewali buzibu.
Obukendeza obulumi (nga ibuprofen) era nedagala erikendeza kamunguluze lisoboola okuyamba ng’ogyamu olubuto. Singa owulira kamunguluze mungi, tukuwa amagexi okumila eddagala erikendeza kamunguluze nga tonamira mifepristone oba misoprostol, okukendez okusesema.
Tewetaga okusiba nga ogyamu olubuto n’obuweke. Osobola okulya n’okunywa nga bulijjo bwokola, okugyako nga obuweke obutadde wansi wolulimi.
Yeno engeri mifepristone ne misoprostol gyebisobola okumilibwamu okukomya olubuto:
Omutendera 1: Nkozesa ntya mifepristone?
Mila akaweke ka mifepristone 200mg namazzi.
Singa osesema musawa emu nga omaze okumira mifepristone, kayinza obutakola era ogyakwetaga okumira akaweke akalara. Singa osesema oluvanyuma lwesawa emu, tewetaga kwelarikilira.
Omutendera 2: Olina okuteeka awo bbanga ki nga omaze okukozesa mifepristone?
Linda wakati wessawa 24 – 48
Mifepristone tatera kukosa, era osobola okweyongera yo nobulamu bw’abulijjo. Ebiseera bitono, abantu abamu bavamu omusayi nga tebana mira misoprostol. Singa kino kibawo, tewali buzibu; weyongeleyo nga bulijjo.
Osoboola okweyongerayo kumutendera ogudako wakati wasawa 24 ne 48 endako, osoboola okulonda akaseera akakwanguyira okutandika. Bwotandiika okumira misoprostol, kakasa nti tewali bulabe era owulira bulungi musawa 12 ekitono, naye nga zadibadde ssawa 24. Singa kisobooka, tukukubiriza okutandiika okukozesa misoprostol kumakya. Kino kikuyamba ko okwetegereza engeri omubiri gyeguyisibwamu mulunaku era n’okukakasa nti obela n’ekiro okuwumula ekimala.
Omutendera 3: Mila obukendeza obulumi
Tandika nga omira obuweke obuweweza obulumi nga ibuprofen (800mg) okumala edakika 30 nga tonakozesa misoprostol kubanga obulumi mulubuto bugya kutandaika mumaso awo nga omaze okumira obuweke. Singa oyina eddagala eliziyiza kamunguluze, limire wamu n’obuweke obuweweza obulumi. Ekidakko, teka obuweke buna obwa misoprostol (200 mcg bulikamu) wansi wolulimi era olindeko okumala edakika 3. Osobola okumira amalusu, naye toyina kwogera oba kulya okumala edakika 30, nywa kumazi era omile bulikimu ekisegalidde kubuweke. Singa tosesema mudakika 30 ekisoka nga omize misoprostol, damu omutendera 3. Singa osesema kade ku kade, tewaliwo kikyetagisa kudamu bulikimu kubanga eddagala liba liyingidde mumubiri. Okulumwa olubuto n’okuvaamu omusaayi bitandikirawo mudakika 30 nga omaze okumira misoprostol, naye kiyinza okukutwalira essawa 24 okutandika. Abantu abasinga batandika okuvaamu omusaayi wakati wessawa 4 ku 6 nga bamaze okumira. Osobola okwingera okumira obuweke 3 ku 4 obwa ibuprofen (200 mg bulikamu) buli ssawa 6 ku 8 okusobola obulumi, singa kyetagisa. Tosusa 3200mg mu ssawa 24, era tokozesa aspirin owabulijjo kubanga ayongeza akabi mukuvaamu omusaayi. Acetaminophen oba paracetamol (1000 mg) asobola okukozesebwa singa oyina obuzibu ne NSAIDs, naye ayinza obutakola bulungi nga ibuprofen.
Omutendera 4: Nteekeddwa okuddamu okufuna dose endala ya misoprostol ddi?
Singa oliwansi wa sabbiti 9 ezolubuto, oba tewetaga dozi yakubiri. Naye singa tovudemu musaayi nga ogw’enaku za bakyal mussawa 24, oba singa welalikilidde okuvaamu omusayi omutono, osobola okumira obuweke bwa misoprostol buna mungeri yemu nga mukusooka. Singa oliwa sabbiti 9-13 ezolubuto, kilungi okumira obuweke obulala obwa misoprostol buna mungeri yemu nga obwa dozi eyasoka, oluvanyuma lw’essawa nya okuva dozi esooka. Kino kiretera obuweke okukola obulungi era kivaamu okugyamu olubuto okugenze obulungi.
Waliwo ekirala kye nnina okumanya nga nkozesa mifepristone ne misoprostol?
Obuzibu buba butono, newankubadde, kyamugaso okusoboola okubwetegereza. Yiga ebisingawo ku bubonero obwokulabula nga omaze okukozesa obuweke obugyamu olubuto.
Singa okozesesa misoprostol, ogyakuba tewetaga kukyalira musawo kukulambu okw’okudamu. Singa oba oyina ebibuzo kumitendera gyokugyamu olubuto era nga wandiyagadde obuyambi obulala, osobola okutukilira mikwano gyaffe aba safe2choose.org, womenhelp.org, oba womenonweb.org.
Nkozesa ntya misoprostol yekka okusonyiwa olubuto?
Ngatonatandika, soma ekiwandiko kyafee: Ngatona kozesa Mpeke. Ngatonamira buweke, kakasa nti:
- toli lubuto lusuka wiki 13 (enaku 91) ;
- wetegereza ebirina okulowoozebwako byona era n’okuwabulwa kwawamu; er
- oyina pulani eyobukumi singa wabawo ebigwabitalaze.
Singa mifepristone taliwo woli, osobola okukozesa misoprostol yeka okukomya olubuto.
“Okugyamu olubuto ne misoprostol, ogyakwetaga obuweke 12 obwa misoprostol mcg.
Okumila obuweke bwa misoprostol 12 kuyinza okukuyamba okufuna okugyamu olubuto okulungi, nadala singa olubuto lwo lwa sabbiti 9-13. Singa olubuto lwo luluwansi wa sabbiti 9 era tewetaga kufuna buweke bwa misprostol 12, osobola okukozesa obuweke 8, naye enkola yabwo ekendera.
Obulumi (ibuprofen) n’eddagala ekigyawo kamunguluze bisobola okuyamba mukugyamu plubuto. Singa owullira kamunguluze, tutesa nti mila eddagala elilwanisa kamunguluze mudakika 30 nga tonamila misoprostol okuziyiza okusesema.
Tewetaga kusiba nga ogyamu olubuto n’obuweke. Osobola okunywa n’okulya nga bulijjo okugyako nga obuweke buliwansi wolulimi lwo.”
Yeno engeri misoprostol gyakozesebwa yeka okumaliriza olubuto
Omutendera 1: Nkozesa ntya dose esooka ya misoprostol?
Tandika nga omira obuweke obuweweza obulumi nga ibuprofen (800mg) okumala edakika 30 nga tonakozesa misoprostol kubanga obulumi mulubuto bugya kutandaika mumaso awo nga omaze okumira obuweke. Singa oyina eddagala eliziyiza kamunguluze, limire wamu n’obuweke obuweweza obulumi.
Ekidakko, teka obuweke buna obwa misoprostol (200 mcg bulikamu) wansi wolulimi era olindeko okumala edakika 3. Osobola okumira amalusu, naye toyina kwogera oba kulya okumala edakika 30, nywa kumazi era omile bulikimu ekisegalidde kubuweke.
Singa tosesema mudakika 30 ekisoka nga omize misoprostol, damu omutendera 3. Singa osesema kade ku kade, tewaliwo kikyetagisa kudamu bulikimu kubanga eddagala liba liyingidde mumubiri.
Okulumwa olubuto n’okuvaamu omusaayi bitandikirawo mudakika 30 nga omaze okumira misoprostol, naye kiyinza okukutwalira essawa 24 okutandika. Abantu abasinga batandika okuvaamu omusaayi wakati wessawa 4 ku 6 nga bamaze okumira.
Osobola okwingera okumira obuweke 3 ku 4 obwa ibuprofen (200 mg bulikamu) buli ssawa 6 ku 8 okusobola obulumi, singa kyetagisa. Tosusa 3200mg mu ssawa 24, era tokozesa aspirin owabulijjo kubanga ayongeza akabi mukuvaamu omusaayi. Acetaminophen oba paracetamol (1000 mg) asobola okukozesebwa singa oyina obuzibu ne NSAIDs, naye ayinza obutakola bulungi nga ibuprofen.
Omutendera 2: Ndeteeka awo bbanga ki wakati wa doozi za misoprostol?
Linda essawa sattu
Omutendera 3: Nkozesa ntya dose ey’okubiri ya misoprostol?
Teka obuweke buna obulala obwa misoprostol (200 mcg bulikamu) wansi wolulimi era okwatilire ko eddakiika 30
Omutendera 4:
Lindako essawa endala ssattu
Omutendera 5: Nkozesa ntya dose esatu ya misoprostol?
Teka obuweke buna obulala obwa misoprostol (200 mcg bulikamu) wansi wolulimi era okwatilire ko edakika assatu.
Nkyayagala okutegeera ki nga maze okukozesa doozi zonna za misoprostol?
Singa otandika okuvaamu omusaayi awamu nokulumwa mulubuto nga omize obuweke. Kakasa nti omira obuweke 12 bwona, newankubade otandise okuvaamu omusaayi nga tonabumira bwona.
Waliwo ekirala kye nnina okumanya nga nkozesa misoprostol?
Obuzibu buba butono, newankubadde, kyamugaso okusoboola okubwetegereza. Yiga ebisingawo ku bubonero obwokulabula nga omaze okukozesa obuweke obugyamu olubuto.
Singa okozesesa misoprostol, ogyakuba tewetaga kukyalira musawo kukulambu okw’okudamu. Singa oba oyina ebibuzo kumitendera gyokugyamu olubuto era nga wandiyagadde obuyambi obulala, osobola okutukilira mikwano gyaffe aba safe2choose.org, womenhelp.org, oba womenonweb.org.
Abategesi:
Byona ebili ku mutimbagano guno bitegekedwa HowToUseAbortionPill.org okutukiriza ebisanyizo n’amateeka gebitongole bino w’amanga: National Abortion Federation, Ipas, World Health Organization, GKT International, ne Carafem.
Ebyawandikibwako:
- Ipas. (2023). Clinical updates in reproductive health. https://www.ipas.org/resource/clinical-updates-in-reproductive-health/
- National Abortion Federation. (2024). 2024 Clinical policy guidelines for abortion care. https://prochoice.org/providers/quality-standards/
- World Health Organization. (2022). World Health Organization’s 2022 Safe Abortion: Technical and Policy Guidance for Health Systems, Second edition. https://www.who.int/publications/i/item/9789240039483